Eno aapu ejja kukuyamba! Ekuwa Ekitabo Ekitukuvu mu Luganda, ku ssimu yo ku bwereere!
Tukuwa Baibuli enzivuunule obulungi mu lulimi OLuganda, emu ku nnimi enkulu mu Uganda. Aboogezi b’Oluganda abasukka mu bukadde 4 kati basobola okufuna Baibuli y’Oluganda.
Sembera eri Katonda ng’oyita mu kusoma Baibuli buli lunaku ku ssimu yo! Baibuli erimu ekigambo kya Katonda ekitaggwaawo. Kino kigambo kya Katonda eky’enjawulo era ekiwa amaaanyi.
Ekigambo kino kikulaga ekkubo ly’obulamu, kikuwa aw’okwewogoma ng’olina emitawaana, entanda Katonda gye yatuwa mu lugendo lw’obulamu buno.
Kati osobola okugifuna mu lulimi Oluganda, ku ssimu yo ku bwereere!
Ekitabo Ekitukuvu kirimu ebitabo 39 mu Ndagaano Enkadde (Olubereberye, Okuva, Ebyabaleevi, Okubala, Ekyamateeka, Yoswa, Ekyabalamuzi, Luusi, 1 Samwiri, 2 Samwiri, 1 Bassekabaka, 2 Bassekabaka, 1 Ebyomumirembe, 2 Ebyomumirembe, Ezera, Nekkemiya, Eseza, Yobu, Zabbuli, Engero, Omubuulizi, Oluyimba lwa Sulemaani, Isaaya, Yeremiya, Okukungubaga, Ezekyeri, Danyeri, Koseya, Yoweeri, Amosi, Obadiya, Yona, Mikka, Nakumu, Kaabakuuku, Zeffaniya,Kaggayi, Zekkaliya, Malaki) n’ebitabo 27 mu Ndagaano Empya (Matayo, Makko, Lukka, Yokaana, Ebikolwa, Abaruumi, 1 Abakkolinso, 2 Abakkolinso, Abaggalatiya, Abaefeeso, Abafiripi, Abakkolosaayi, 1 Abasessaloniika, 2 Abasessaloniika, 1 Timoseewo, 2 Timoseewo, Tito, Firemooni, Abaebbulaniya, Yakobo, 1 Peetero, 2 Peetero, 1 Yokaana, 2 Yokaana, 3 Yokaana, Yuda, Okubikkulirwa)
Soma Baibuli y’abaganda, mu lulimi oluyonjo era olw’omulembe. Funa Baibuli yaffe ey’Oluganda kati kati ku ssimu yo!
This version of Baibuli y’Oluganda Android App comes with one universal variant which will work on all the Android devices.
If you are looking to download other versions of Baibuli y’Oluganda Android App, We have 7 versions in our database. Please select one of them below to download.